Oluguudo lwa Busega-Mpigi, UNRA ssi lwakuggulwawo mu 2025
Kitegeerekese nga enteekateeka z'okuzimba oluguudo lwa Busega-Mpigi Express way olubadde lusuubirwa okugibwako engalo omwaka ogujja, bwezikyuuse nga kati luno lwakumalirizibwa mu August wa 2027. Aba UNRA bagamba nti wabaddewo okusoomoozebwa kungi kwebasanze nga kyabalemesa okumala omulimu guno mu budde nga bwekyalina okubaawo mu 2022. Mu bini bye beekwasa mulimu ekirwadde ki Covid-19 n'abantu abaali bagaanye okuwayao ettaka lyabwe okuzimbako oluguudo.