OLUKUNG’AANA LWA NAM: Abataataaganyiziddwa basabiddwa okuba abagumiikirize
Ozze alaba abantu abenjawulo nga beemulugunya eri gavumenti olw'okubataataganya mu nteekateeka z'okukyaza olukungaana lw'amawanga ga nnampawengwa e Munyonyo. Mu bano mulimu aba Boda boda, aba Mobile money n'abalala abakolera ku nguudo ezimu mu Kampala ne Ntebe. Bano gavumenti ebasabye bagigumiikirize okutuusa ng'olukungaana luno luwedde olwo baddemu beetaaye. Minisita w'ekikula ky'abantu Betty Amongi yayogedde ku lwa gavumenti mu lukungaana lw’abamawulire mu Kampala.