OMUKAZI EYATEMUDDWA E LUWERO: Kizuuse nti yattiddwa mukwano gwe, bba yamuleka Mpigi
Waliwo ebizuuse ku mukyala eyatiddwa eggulo mu district y’e Luwero nga biraga nti eyamusse teyabadde mwami we wabula mukwano gwe eyamuyise ng’amutegezezza nti yabadde amufunidde omulimu. Omugezi ye Sharon Tibiwa Twagaliza abadde atemera mu gy’obukulu 19, era ng’ono yava wa mwami we ku kyalo Bulamu mu Ggombolola y’e Muduuma e Mpigi okugenda e Luwero gy’eyafiridde. Kiteberezebwa nti eyamusse abadde amwegwanyiza.