Omukuumi wa Bugingo: Aba SFC bagamba abadde musajja waabwe
Maj. Jimmy Omara ayogerera amagye agakuuma omukulembeze w'eggwanga aga SFC akakasizza okufa kwa musajja waabwe Kopolo Richard Muhumuza abadde omukuumi wa Pasitor Bujingo. Agambye nti Kopolo Richard afiiridde ku mulimu gwamazeeko emyezi nga mwenda gyokka nga abadde yasindikibwa kukuuma Pastor Bujingo. Maj. Jimmy Omara ategeezeezza nti ekitongole kya SFC ekinoonyereza nga kikolagana n'ebitongole by'ebyokwerinda ebirala batandise okunoonyereza ku bulumbaganyi buno.