Omulangira Daudi Golooba aterekeddwa ku masiro e Kasubi
Omulangira Daudi Golooba omubuze, atenderezeddwa olw’ettafaali lyeyateeka ku kunyweza n’okuzimba obwa Kabaka bwa Buganda, okwo kwossa okuba omwesimbu mu by'akola.Omulangira Golooba abadde mukulu wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, nga wafiiridde nga yasiramuka, era nga asoose kusaalirwa ku muzikiti e Kibuli, nga kukulembeddwamu Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi.Oluvanyuma Omubuze aterekeddwa mu Masiro g’e Kasubi, omukolo ogwetabiddwako abantu ba Buganda, olulyo olulangira, Nabagereka Syrivia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ba katikkiro abaawummula, bamminisita b’obwakabaka, bannaddiini, saako n’abakulembeze abalala mu biti eby’enjawulo.