Omuntu omu afudde, 15 bafunye ebisago mu muliro e Kampala
Abantu basatu be bagambibwa okuba nga bafiiridde mu nabbambula w'omuliro akutte ekizimbi okuli Sunrise Hotel mu Kampala n'abalala abali eyo mu 15 ne babuukawo n'ebisago.Bino bibaddewo mu ssaawa z'omuttuntu era nga abantu balabiddwako nga bawandagala okuva mu madirisa g'ekizimbe okutaasa obulamu.Ekivuddeko omuliro guno tekinategeerekeka wabula nga waliwo abateebereza ebirungo ebikozesebwa okukola ssabuuni 'amazzi byandiba nga byebitulise.K'atufune ebikirawo.