Omwana omulala yattiddwa mu bya kalogo-kalenzi e Masaka
Wabaluseewo obweraliikirivu e Ddimo mu gombolola ye Kyesiiga mu district ye Masaka oluvannyuma lw’abaana babiri okuwambibwa sabiiti ewedde omu nattibwa.Olunaku lwa jjo waliwo omwana ow’emyaka 7 eyanunuddwa okuva mu mikono gy’abawambi nga baabadde bakanda bazadde be obukadde 25.Omwana eyatiddwa yagyiddwamu ebimu ku bitundu by'omubiri ekiraga nti kyabaddemu ebikolwa ebya kalogo-kalenzi.