Paapa Francis afudde! Vatican etandise ennaku mwenda ez’okukungubaga
Bwe wataba kikyuka, Paapa Francis wakuziikibwa ku Basilica ya St. Mary Major mu kibuga Roma ku lunaku Ekelezia Katulika lw'etannaba kulangirira.Omulangira wa Kelezia yafudde ku makya ga leero era bino bikakasiddwa abakulu mu Vatican. Paapa abadde amaze ekiseera nga atawanyizibwa ekirwadde kya Lubyamira era ng’abasawo babadde bamujjanjabira waka okuva lwe yasiibulwa mu ddwaliro.Obubaka obukubagiza Abakatuliki okwetoloola ensi bwo bukyayiika nga mazzi n'okutuuka olwaleero.