PAMITI ZA BODA ZISALIDDWA: Aba boda boda bakubiriziddwa okuzifuna
Abakulembeze babavuzi ba Boda Boda basanyukidde ekya gavumenti okukendeeza ebisale bya driving permit z'okuvuga Pikipiki .Okugezi Pamiti empya ey'omwaka omulamba ebadde egula emitwalo kkumi neesatu nga kati ya mitwalo kkumi so ng'eyemyaka esatu egula emitwalo kkumi neesatu okuva ku abiri mu esatu kwebadde .Minisita omubeeze ow'ebyentambula Fred Byamukama asabye aba Boda boda okwettanira okufuna Pamiti oluvannyuma lwa gavumenti okusala ebisale by'okuzifuna .