Poliisi erinnye mu lukwe lw’okubba bbanka, omu attiddwa e Wakiso
Wabaddewo okuwaanyisiganya amasasi ku kyalo Koona East e Wakiso nga Poliisi erinnye eggere mu lukwe lw’okubba ettabi lya Banka ya DTB erisangibwa mu kitundu kino .Olukwe luno lubadde lulukiddwa abakuumi ba kkampuni y’obwannanyini ekuuma bbanka eno era omu attiddwa wakati mu kuwaanyisiganya amasasi okubaddewo .Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza leero .