Pulezidenti Museveni alabudde bbanka ku nsimbi za PDM
Omukulembeze w'e ggwanga Yoweri kaguta Museveni alagidde banka okukoma okujja omutemwa ku ssente ezirina okuweebwa abantu mu nkola eya Parish Development Model. Kino kiddiridde abatuuze be Mubende okutegeeza pulezidenti nga banka bwezirobola ku nsi nsimbi ze baba balina okufuna , ekibalemeseza okuziiganyurwamu. Kino ekiragiro pulezidenti akiweeredde Mubende ewakuziddwa okunaku lw'ameenunula nga Uganda ag'omulundi ogwa 39.