TUKOOYE KASASIRO EWAFFE: Ab’e Kyengera balidde matereke ne poliisi
Poliisi y’eKyengera ekedde kulya matereke n’abatuuze ku kyalo Maggwanga - Mpangala abeekalakaasizza nga bawakanya ekya kasasiro ayiibwa mu kitundu kino gwe bagamba nti ayinza okubaviirako endwadde. Bano balumiriza KCCA n’abakulira town Council ye Kyengera okwesulirayo ogwanagamba kunsonga eno.