UGANDA ERINA EBY’ENKIZO BINGI: Museveni akunze amawanga okujja kuno okusiga ensimbi
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni akunze amawanga amalala okujja kuno okusiga ensimbi. Mu bubaka bwatisse omumyuka we Jessica Alupo, Museveni anokoddeyo ebintu ebyenjawulo Uganda by'erina ebiwa bamusigansimbi enkizo okukola emirimu gyabwe obulungi n'okuggyayo amagoba. Bino bibadde mu lukungaana olw'ebbali kwezo ezitambulira awamu n'olwomukago gw’amawanga ga nnampawengwa oluyindira e Munyonyo.