Waliwo aba NUP abaawambibwa abateereddwa olwaleero
Bannakibiina ki NUP okuli n'abakulira akakiiko k'ebyokulonda abaali baawambibwa gye buvuddeko baludde ddaaki ne bayimbulwa.Akulira ekibiina ku kino Robert Kyagulanyi ayagala n'abantu baabwe abatannayimbulwa nabo babaleke balye butaala, nti bbo ng'ekibiina ssi baakukoma kussa gavumenti ku nninga.Bino bigenze okubaawo, nga aba famire z'abantu bano bali ku bunkenke.