Waliwo abaagala okusoma mu nnimi ennansi kussibweko essira
Abasomesa basabye ab’ebyenjigiriza okwongera amaanyi mu kusoosowaza ennimi enzaaliranwa mu bibiina bya primary ebya waggulu, kino kisobozese abayizi okutegeera obulungi ebye byebasoma.Okusinziira ku by'ensoma, abayizi ba primary eya wansi, oba P3 n'okudda wansi abayizi basomesebwa mu nnimi enzaliranwa ku mutendera guno.
Ate bwebatuuka ku mutendera gwa primary eyawaggulu, abayizi basomesebwa mu lulimi luzungu. Kyokka okunoonyereza okwakolebwa ekitongole ki UWEZO kulaga nti babiri ku buli bayizi kkumi mu bibiina okuva ku P3 okutuuka ku P7 beebasobola okusoma n'okutegeera emboozi z'ekibiina eky'okubiri mu nnimi zaabwe enzaaliiranwa.