Waliwo bannayuganda abaakukusibwa e Myanmar
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuziyiza okukusa abantu mu ggwanga mu ministry evunaanyizibwa ku nsonga z’omunda kitegeezezza nga bê ky’akanunula Bannayuganda abwera 21 abaali baakukusibwa ne batwalibwa mu ggwanga lya Myanmar gye bagambibwa okula nga babadde bali mu mikono gy’abayeekera. Ekitongole kitegeezezza nti ekyaliyo abalala abawera 22 abaali baatwalibwa okukola mu ggwanga lya Thailand nabo ne bakomekkereza nga bakukusiddwa ne batwalibwa mu ggwanga lya Myanmar.