Wuuno Lillian Lamba alafuubanye okusomesa abaana be yekka
Obutabangukao mu maka ebiseera ebisinga buvaako omuntu okugwaamu esuubi n’okweraba ng'atalina mugaso ekitta enyo ebirooto by’omuntu. Kati mu mboozi eno, ogenda kulaba omukyala Lillian Lamba eyayawuka n’abasajja babiri lwakulemererwa kutukirizza buvunanyizibwa bwabwe nga ba taata saako n’ejoogo, olwo nasalawo okusigala yekka alabirire abaana be abasatu, kino asobodde okukikola nga atuunda kalonda w’ebintu mu ka kaduuka akasangibwa mu Lufula yawano mu Kampala.