ZUNGULU : Abaagenze mu Lubiri okudduka bagamba baabadde bawenja babbi ba mabaati
Ng'ensonga z'amabaati zikyagenda mu maaso, buli bannayuganda kyebakola kati, bagamba bakikola ku lwa ba minisita abeegabanya amabaati, n'abaagenze mu lubiri okudduka bagamba baabadde bawenja babbi ba mabaati.Bbo aba Opposition besiibira mu ndongo nga bakoona, bagamba ebizibu by'okuyiggibwa poliisi kati baabirekedde ba minisita.Dr Besigye naye anyumya ku mulabe asiiba amukanga wabula nga ssemufu ali mu nnimiro kugoba nkima