Abakkiririza mu byóbuwangwa bakungaanidde ku mugga Mubeeya okumalako omwaka
Abakkiririza mu byóbuwangwa ne nnono, bakungaanidde ku mugga Mubeeya mu Kyaggwe mu bikujjuko byabwe eby’okumalako omwaka 2024.
Nga bakulembedwamu omukongojja omukulu ku biyiyilo bya Mubeeya Judith Natumani Mubeeya, basabye abantu okudda eri enzikiriza.
N’abakulembeze b’e kyalo Busammula mu district ey’e Mpigi baasalawo okumalangako omwaka mu ngeri y’okwolesa obumu ku kyalo kyabwe, nga beetaba mũ misinde gi mumuna byalo.