Abantu abayiirwa Acid bakukkulumira ab'eby'okwerinda,tebafunanga bw’enkanya
Abantu abayiirwa Acid bakukkulumira ab’obuyinza olw’okulemererwa okubawa obw’enkanya olw’abo ababatuusa ku mbeera eno bbo okusigala nga bayinaayina.
Bagamba basabibwa ebintu ebitasoboka nga obujulizi kyoka nga tebalina webasobola kubijja.
Poliisi nayo egamba bano baliko ensobi zebakola ezigiremesa okukola ogwayo mu kunoonyereza ku misango egy’ekika kino.