Akabenje e Kyenjojo: 14 bafu, 22 bali ku bisago
Abantu 14, beebafiiridde mu kabenje motoka kika kya Drone bbiri bwezitomeraganye.
Abantu 11 bafiiriddewo ate abalala 3 befudde baakatuusibwa mu ddwaliro e Fort portal, nga bbo abalumiziddwa bali 22.
Poliisi egamba obuzibu buvudde ku ndiima.