E Mityana RDC alagidde abatuuze okudda ku ttaka
Abatuuze ku kyalo Gayaza e Banda mu Mityana basobeddwa oluvanyuma lw’abeeyita bannanyini ttaka kwebali okubagobaganya.
Ettaka liko liweza yiika 278 nga mu kiseera kino teri akkirizibwa kukolerako kintu kyona.
RDC wa Mityana abasisinkanye n’abalagira bade ku ttaka nga bwakola ku nsonga zino.