Okutumbula obuwangwa n'e nnono:Waliwo amasomero agagenda okuzimbibwa mu Buganda
Omutaka Augustine Kizito Mutumba alaze obwennyamivu olw’engeri abaana ba Buganda gyebongedde okukyawa n’okwesamba eby’obuwangwa n’ennono olw’ensonga ez’enjawulo.
Ono akubirizza abantu okufuba okulaba nga baagazisa abaana obuwangwa bwabwe naddala ebika mwebasibuka, olwo ekitiibwa kya Buganda lwekinaasobola okudda ku ntikko.
Bino bituukiddwako mu kutongoza okuzimba amasomero g’okubangula abaana mu mpisa n’ennono n’ekigendererwa eky’okuzzaawo obuwangwa bwa Buganda.