Gavumenti egende kutandika okugema ekirwadde ki Mpox
Minisitule y’eby’obulamu etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema ekirwadde kya kawaali w’enkima oba Monkay Pox, omwezi ogugya oluvanyuma lw’okufuna eddagala okuva mubazirakisa. Minisita w’eby’obulamu Jane Ruth Acheng, bwabadde awa ebibalo by’ekirwadde kino bwebiyimiridde mu ggwanga, ategeezeza nga bwebweyongedde mi bitundu bya Kampala n’emiriraano. Nga ogyeko abakyala abeetunda, abavuzi ba boda boda ne taxi nabyo bikoze ky’amanyi okusaasanya ekirwadde kino - kati abakulembeze mu bitundu eby’enjawulo basabiddwa okusitukiramu.