Emiwendo gy'amasannyalaze gisse
Gavumenti erangiridde emiwendo gy’amasanyalaze emigya, nga jino gyakugenda mumaaso okumala emyezi essatu.
Okusinzira kuminisita w’amasanyalaze n’obuggaga obwensibo Ruth Nankabirwa wadde nga gavumenti egenda kufiirizibwa ku nnyingiza, wabula kino bakikola okusobozesa banna Uganda buli omu okukozesa amasannyalaze gy’ebugya nga tanyigirizibwa.