Enjega e Karamoja : Abavubuka ababadde bayigga emmese bookyeza ennyumba 200
Ennyumba z’abantu ezisukka mu 200,mu district okuli Nabilatuk, Moroto ne Napak, mu Karamoja, zaasaanyibwawo nabbambula w’omuliro, eyakwata, abavubuka ku mu kitundu bwebaali bayigga emmese nebookya ebisubi mwezaali zeekweese.
Okuva olwo abantu tebalina webeegeka luba.
Kati olwaleero ekitongole ki Red Cross kidduukiridde abattu bano nébikozesebwa ebya bulijjo.