Eyagenda ku kyeyo e Saudi Arabia asaba bazadde be bamujjeyo
Waliwo omuwala alaajanira mu katambi akatambula ku mikutu gi mugatta bantu, nga asaba bazadde be bamununule okuva mu ggwanga erya Soud Arabia gyeyagenda okukuba ekyeeyo, olw’okubonaabona kwa liko.
Bazadde b’omuwala ono Prossy Nambalirwa,tusobodde okubasanga ku kyalo Lwembogo ekisangibwa e Ssembabule, kyokka nga ennaku gyebalina eyoza lumonde, okusobola okununula muwala bwabwe.
Kati basaba gavumenti okubayamba omwana wabwe adde okwaboobwe. Nambalirwa yaleka abaana 3.