Nadduli awadde president Museveni amagezi akole government ey’ekintabuli
Omuwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga ku nsonga za Buganda era eyaliko minisita atalina kifo kyankalakalira Al-Hajji Abdul Nadduli ayagala ssemateeka we ggwanga akyusibwemu President Museveni akole government ey’ekintabuli n’abamuvuganya.
Nadduli agamba nti akooye okulaba omusaayi oguyiika n’abantu ababonyabonyezebwa olw’eby’obufuzi naddala abavuganya President Museveni.
Nadduli awayizaamu n’omusassi waffe Herbert Kamoga era bino by’atugiddeyo.