Omuliro gwakutte ekizimbe abasubuzi webabadde bakolera
Eby’amaguzi bya bukadenabukadde bitokomokedde mu muliro ogukutte ekizimbe ki Nyumba-Kubwa ekisangibwa ku Arua Park, mu ttuntu lya leero.
Kino kiresse abasuubuzi ababadde bakikolerako bali mu maziga oluvannyuma lw'emmaali yaabwe okuggwekerera. Ekizimbe kino kibadde kisinga kutundibwako engoye, ebyamasannyalaze, batule ne kalonda omulala owenjawulo.