Ab’e Masajja basatila lwa kwesenza mu ntobazzi
Abatuuze b’e Masajja mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo batabukidde abakulembeze baabwe ababadde bazze okubategeeza nga ekitongole kivunaanyizibwa ku butonde bwe nsi ki NEMA bwekyabawandiikidde okulagira abeesenza mu ntobazi okuzaamuka nga tebannaba kusendebwa. Bano okutabuka kidiridde abakulembeze bano okujja nga tebalina mukungu wa NEMA yenna okujjako ekipapula kyebabasindikidde ekiwa abatuuze bano ennaku 28 okwetegula entobazi. Ebyalo ebiwerako byebisuubirwa okukosebwa mu nteekateeka eno. Abatuuze bano okutabuka babade mulukiiko oluyitiddwa abakulembeze omutema empede ku kiwandiiko kye bagamba nti NEMA yabawade enaku 28 nga bavudewo oba okubamenya