Ab’eby’obulamu e Kawempe basabye banneekolera gyange okuwummuzaamu mu mulimu lwa MPox
Ab’eby’obulamu mu KCCA n’abakulembeze e Kawempe basabye banneekolera gyange okusooka okuwummuzaamu mu mulimu guno obulwadde bwa kawaali w’enkima oba Monkey Pox busooke bukendeere. Kizuuliddwa nga obulwadde buno bweyongedde nyo mukitundu kino naye nga businze kutambuzibwa bantu abatunda akaboozi. Bano olwaleero balambudde e Kimumbasa nga bagenda basisinkana abakazi abettanira omulimu guno.