Aba Haba batandise okugaba e mmere
Mu kaweefube w’okulwanyisa enjala mu bataliiko mwasirizi, ab’ekitongole ky’obwannakyewa ki Haba na Haba, bakwatagenyeeko n’aba Food banking Regional Network okuduukirira amaka agasoba mu 5000 n’ebyokulya ebijjudde ebirongo ebyetagisa mu mubiri gw’omuntu.
Bano kaweefube ono bamutandikidde ku maka g’abakateyamba aga Missionaries of the poor good shepherd home mu Kisenyi.