Ababaka 12 bagobeddwa mu ntuula za palamenti eziwera ssatu olw'okusiiwuuka empisa
Ababaka 12 bagobeddwa mu ntuula z'a palamenti eziwera ssatu olwokusiiwuuka empisa mu lutuula lwa palamenti olw'olwaleero olusazeewo okuyisa ebbago ly'etteeka ku mmwanyi li National Coffee Bill erigendereddwamu okuggyawo ekitongole kyemmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority Akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi agamba nti abamu ku babaka abagobeddwa mu ntuula balumiziddwa nga bakwatibwa abantu abalowoozebwa okuba nga babyakwerinda