Ababaka ba palamenti batadde ab’eby’okwerinda ku nninga olw’abavubuka 6 abattibwa e Kamwokya
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’eby’okwerinda mu palamenti batadde omuduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba ne minisita w’ensonga z'omunda Maj. Gen. Kahinda Otafiire ku nninga banyonyole ku baserikale baabwe abatta abantu 6 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka e Kamwokya ku ntandikwa ya sabiiti eno. Bano ne Otafiire babadde balabiseko eri akakiiko kano okuwa endowooza yabwe ku mbalirira ey’omwaka gw'ebyensimbi ogujja.