Abadde afulumye okufuuyisa bamusaze obulago mu kiro
Abatuuze b’e Ndejje Mirimu Zooni bakeeredde mu ntiisa okusanga omulambo gw’omuntu gwebatamanyi nga ateeberezebwa okuba nga abadde wa boda boda. Omulambo poliisi egujjeewo n’egutwala nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso. Ate ku kyalo Katwe ekisangibwa e Mawonve mu tawuni kanso y’e Mpigi nabo bakeerede mu ntiisa okusanga munaabwe nga asalidwa obulago ali mu kitaba kya musiiyi. Ekirundi ono abadde akyalimu akalamu n’addusibwa mu ddwaliro, kigambiba abaakoze kino yabaguddemu afulumye bweru mu kiro okufuuyisa.