Kkooti ensukulumu eweze okuwozesa abantu ba bulijjo
Kkooti ya Uganda ensukkulumu, eyisizza ekiragiro eky’amangu abantu babulijjo bonna ababadde n’emisango mu kkooti y’amaje emisango gyabwe gitwalibwe mu kkooti ez’abantu babulijjo gyegibeera gyiwulirwa. Okusinziira ku Ssaabalamuzi w’e gwanga Alfonse Winy Dollo, okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye kikontana ne ssemateeka w’eggwanga. Ku balamuzi 7 ababadde mu nsala eno, tewali n’omu abadde awagira ky’abantu ba bulijjo kuwozesebwa mu kkooti y’amagye.