E Luweero, amasomero agaagudde baakunyonnyola
Abakulu bamasomero ag’akoze obubi mu disitulikiti y’e Luwero baakuyitibwa babitebye ekyaviiriddeko abayizi okukola obubi ebigezo byabwe ebya P. 7. Mu disitulikiti eno abayizi 1,085 sibakweyongerayo mu siniya olw’okugwa ebigezo by’eky’omusanvu. Amasomero agakoze obubi ddala mu Luwero kuliko Kisazi Primary School, Kyanukuzi Umea P/S, ne Muwangi R/C nga mwago gonna abayizi ebitundu 50 ku buli 100 baagudde. Kati Ssentebe wa disitulikiti eno Erasto Kibirango agamba abakulu b’amasomero gano balina okunyonyola.