Ensoma empya: abasomesa bakutandika okubangulwa
Abamasomesa mu masomero ga siniya aba S.5 ne 6 baakutandika okutendekebwa ku ngeri y’okusomesa abayizi mu nsoma empya ku balaza ya wiiki ejja. Enteekateeka eno yaakutandika n’abakulu b’amasomero. Bino bitutegeezedda aba minisitule y’e by’enjigiriza ku mukolo gw’okuggalawo okusunsula abayizi abagenda okwegatta ku siniya esooka.