Amazalibwa ga Kabaka: Owek. Nsibirwa yaagenda okukulira enteekateeka
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, atongoza akakiiko akanategeka emikolo gy’amazaalibwa ga Ssaabasaja ag’emyaka 70. Akakiiko kano kaakukulibwa omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Joseph Waggwa Nsibirwa. Abaweereddwa obuvunanyizibwa abakubiriza, okumanya obuvunaanyizibwa obuboolekedde okugyayo ekifaananyi ky’obukulu bw’omukolo guno mubwa Kabaka. Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Waggwa Nsibirwa awezze nga bwagenda okukola obutaweera, okulaba nga enteekateeka zitambulira kukutambula emiramwa gy’obwakabaka.