Okulyanyisa obukyafu; aba wofiisi ya ssabaminisita basitukiddemu
Abavubi ku mwalo gw’e Masese mu kibuga Jinja bali mubweralikirivu obw’okulumbibwa eddwadde eziva ku bukyafu. Bagamba buli enkuba lw’etonya mazzi gakulukutira mu nyumba zaabwe n’obukyafu ekintu ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga. Kati aba wofiisi ya Ssabaminisita nga bayambikwako ebitongole by’obwannakyewa okulaba nga baagazisa abantu ku mwalo guno okusima kaabuyonjo.