Ani omutufu ku kifo kya Kawempe North?
Abatuuze ba Kawempe North balaze obweraliikirivu eri abantu abegwanyiza ekifo kya Kawempe nti bayinza obutabakolera nga omubaka wabwe omugenzi Muhammada Ssegirinya bweyakola. Bagamba bebawulira abegwanyiza ekifo kino bangi babesibamu bwesiba nga sibantu baabwe bebawangadde nabo mu kitundu abategeera ebizibu byabwe kuba bbo omubaka waabwe baali bawangadde naye nga amanyi buli kizibu kiruma bannakawempe nga yensonga lwaki ebisinga yali atandise okubikolako. Okwogera bino nga ab’egwanyiza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North bangi abavuddeyo okukyesimbako naye nga sibamukitundu ekyo wadde nga ssemateeka ebawa olukusa okuvuganya.