Abakulembeze e Lwamalenge bayise olukiiko okuwulira okwemulugunya kw'abatuuze ku bannansi ba Rwanda
Abakulembeze ku kyalo Lwamalenge nga bali wamu n'ab’eby’okwerinda mu gombolola y’e Kitanda mu Bukomansimbi bayise olukiiko okuwulira okwemulugunya kwabwe kubannansi ba Rwanda bebabadde bagamba ababafuukidde ekizibu ku kitundu. Bano babadde baagala babaviirire ekitasobose olw’abatuuze okubaddiramu.