Abakyala ba NUP basabye bannabwe okwenyigira mukulwanyisa obutabanguko mu maka
Abakyala bannakibiina ki National Unity platform bagamba nga ogyeko okusaba enkyukakyuka mu bukulembeze bwe ggwanga, bakuwaayo akadde beegatte ku mugendo ogw’okulwanyisa ebikolwa by'obutabanguko mu maka n’eby’ekuusa ku kikula ky'omuntu. Bagamba bakusomesa abaana abawala ku nneeyisa egwana mu bantu, kko n'obutetuulako nga bafunye okusomoozebwa okwekuusa ku kikula kyabwe. Okwogera bino babade mu musomo gw'e bategese okwefumitiriza ku naku 16 ez’okulwanyisa obutabanguko mu maka ezikomekkerezeddwa olwaleero.