Abantu 18 bebakakwatibwa olw’okweenyigira mu kubba bigezo bya P.7 ne S.4
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo ki UNEB, kikakasiza nga bwekyakakwata abantu 18, okwetoloola eggwanga lyonna nga beenyigira mu kubba ebigezo bya siniya ey’okuna ne P.7. Kati era kirabudde abantu ku bigenzo ebitandise olwaleero ebya siniya ey’omukaaga obutagezaako kwetantala ku koppa.