Abataka bakombye kwerima, tetuva Namibia nga tetulabye Kabaka
Bajjajja abataka b’obusolya, abakulira ebikka mu Buganda basituddemu okwolekera egwanga lya Namibia okulaba embeera y’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka. Bategeezezza nga bwekibade kibakakatako okumanya ekituufu ku bulamu bw’omutanda okusinga okubanyumiza obunyumiza. E Namibia bano basuubira okumalayo ennaku 5, bwebatyo nebasaba abazzukkulu okubeera bakkakamu nga bwebalinda amazima gebagenda okubaleetera ku mbeera ya Kabaka.