Abavubi batandisewo kaweefube w'okusomesa n'okukubiriza banaabwe bave ku nvuba embi
Abavubi be by’enjanja batandiseewo kaweefube w’okutabaala enyanja n'emigga mu ggwanga lyonna nga abasomesa nokukubiriza banaabwe baviire ddala ku nvuba embi
Bano abeegattira mu kibiina ki Empuuta Conservation and Stakeholders Association bagamba nti bangi ku banaabwe bakyalameddwa engeri y’okuvuba nga tebamenya mateeka, kwekusalawo babanyonyole mu lulimi lwe bategeera.
Kaweefube ono basazeewo okumukola namaggye agalwanyisa envuba embi, nga batandikidde ku kizinga kye Liibu ne Lyabaana mu disitulikiti ye Buvuma.