ABEESENZE KU TTAKA LY'EKIBIRA BAKIGUDDEKO: E Mayuge ennyumba zaabwe ziteekeddwa omuliro
Wabaddewo akasattiro nga abatuuze ku byalo bisatu e Mayuge south bwebavudde mu mbeera nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’ekitongole ky’ebibira ki National Forest Authority [NFA] okuteekera enyumba zaabwe omuliro kko n’emmere yabwe nga kibalumiriza okwesenza ku ttaka ly’ekibira. Abatuuze bazibye ekkubo, wakati mu kwemulugunya olw’okugobaganyizibwa. Kati nabo basazeewo okweng’anga aba NFA nga bakozesa ebiso era obwedda buli gw’osanga akutte najjolo awera okufaafagana n’amugobaganya ku ttaka. Bano amyuka RDC e Mayuge abasekeredde n’abawa gaabuwa okwamukka ettaka lino.