E Busia batambulira mu kutya: Ebibe birumbye ekyalo
Abatuuze ku kyalo solo C mu town council ye Busia basula ku tebuukye oluvanyuma lw’ebibe okulumba ekyalo ne biruma abatuuze abawerako.
Abalumiddwa basangidwa ku ddwaliro lye bisolo e Busia nga bafuna obujanjabi.
Abakulembeze balaajanidde ab’obuyinza okubayamba bwekiba kisoboka ebibe bino bittibwe