E Mpigi, ab'eby'obulamu batandise okugema kw'ekikungu okw'obulwadde bw'olukusense mu baana
Olwaleero ab’eby’obulamu e Mpigi lwebatandise okugema okwekikungo ekirwadde ky’olukusense mu baana - RDC alabudde abantu abavumirira enteekateeka eno nti balye kamanye nga akoza n’owebwa. Bano batandikidde mu masomero ag’enjawulo era abaana abawererako ddala bagemeddwa - enteekateeka eno yatandikiddwa oluvanyuma lw’obulwadde buno okweyongera mu disitulikiti eno.