Ebibuuzo by'abasawo n'abazaalisa bitandise: Abasoba mu 50,000 bebabitudde
Abayizi 52,922 abasoma obujanjabi n’obuzaalisa okuva mu ggwanga lyonna batandise ebigezo byabwe eby’akamaliririzo ku mutendera gwa Diploma ne Certificate. Tukitegedde nti bano bagenda kutuulira mu bifo 123 ebyakakasiddwa.
Akulira ekitongole ekigolola ebibuuzo by’abaana bano ki Uganda Nurses and midwives examinations boards Hellen Mukakaliisa atugambye nti ebibuuzo bitandise bulungi.